Isaiah 49:20-26

20 aAbantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 bN’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
naye ate bano, baava wa?’ ”

Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa

22 cBw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero
era ndiyimusiza abantu ebbendera yange:
era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba
ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
23 dEra bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”

24 eOmunyago guyinza okuggyibwa ku mutabaazi,
oba omuwambe omutuukirivu okuwona omutabaazi?
25 fNaye bw’ati bw’ayogera Mukama:

“N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe,
n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo,
kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe,
era ndirokola mponye abaana bo.
26 gNdiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo.
Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini.
Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo,
Omununuzi wo,
ow’Amaanyi owa Yakobo.”
Copyright information for LugEEEE